Pageviews

Thursday, March 10, 2011

Ug Lyrics - Bayuda [Jose Chameleone]

Bayuda tuyita nabo,……..Nabo

Abalala tuseka nabo,……… Nabo
Olw’ekisa tugabana nabo,…Nabo

Tubamanyi butabagamba.

Verse 1
Kiruma nga gw’oyita mukwano gwo ennaku yo agifudde essanyu, obadde omwesiga, abadde akweyuna, bambi buli lw’abadde mu nnaku.
Kati lupiiya amusingidde omukwano,
mubadde bataayi naye kati kacwano,
ekinneewuunyisa, bannaffe abatusuuta, tebandibadde abo ate ne batutunda.
Toggwamu ssuubi be yalyanga nabo ku mmeeza baamutunda abiri gokka aga feeza. Wulira bino…..

Verse 2
Butamanya waliwo abaatusookawo, nga tuzaaye waliwo abalibeerawo, ebitumalamu byo twabisangawo. Naye nno lulikya lumu byonna ne tubirekawo.
Kiruma munnoowo nga y’akuvuddemu, banka y’ebyama byo ajaabuluddemu,
bagendeko mpola abasinga be bamu.
Ekinneewuunyusa, bannaffe abatusuuta tebandibadde abo ate ne batutunda,
Toggwamu ssuubi, be yalyanganabo, ku mmeeza, bamutunda abiri gokka aga feeza. Wulira bino.

Verse 3
Tubenga benkanya abange bwe kisaana,
twegenderezenga abangi abatuwaana, bennyini abatuwaana ate be batukiina,
ne bw’okola amakula tebasiima, obulimba bubasingira omukwano. Mubadde bataayi kati kabwa na ngo, ekinneewuunyisa bannaffe abatusuuta tebandibadde abo ate ne batutunda,
Toggwamu ssuubi, be yalyanga nabo ku mmeeza baamutunda abiri gokka aga feeza, wulira bino.

Verse 4
Tuyita naboooo, ne batutunda, tebaswaala, naye luliba olwo ne baswaala. Tuyita nabo, tugabana nabo, tuseka nabo, nate tulya nabo, tukola nabo, ne tubeera naboooo, naboo, naboo, naboo tulabye.

No comments:

Post a Comment

Please leave your comment here...